Jesuit Refugee Service

 

Jesuit Refugee Service (JRS) kitongole ky'abakatoliki n'ekigendererwa eky'okuweereza, n'okulwanirira eddembe ly'abanoonyi b'obubudamo n'abalala abaasindikirizibwa n'okukkiriza nti bagya kuwona, kuyiga n'okugera ebiseera by'abwe eby'omumaaso. Kyatandikibwawo mu Gwekkuminogumu 1980 ng'omulimu gwa Society of Jesus, JRS ky'awandiikibwa mu butongole nga 19 Ogwokusatu 2000 mu kibuga kye Vatican ng'ekibiina. Ekirowoozo ky'okutandikawo JRS ky'ava ku mukulembeze omusukkulumu Jesuits, Pedro Arrupe, ey'asikirizibwa ebikolwa bya bantu ab'ettabu aba Vietnamese boat people.[1] JRS erina pulogulaamu mu mawanga agasoba mu 50. Emirimu gy'akyo giri mu bisaawe nga eby'enjigiriza, obuyambi obw'obunnambiro, eby'obulamu, obulamu obw'abulijjo, okubudabuda, n'okuwagira embeera z'abantu ababulijjo. JRS era yetaba mu kulwanirira emirimu gy'eddembe ly'obuntu. Mu mulimu okukakasa nti abanoonyi b'obubudamo baweebwa eddembe ly'abwe mu bujjuvu nga bw'ekibaweebwa mu 1951 Geneva Convention relating to the Status of Refugees[2] n'okukola n'okunweza obukuumi obuweebwa abantu abkakibwa okuva mu mawanga g'abwe okufuuka ababudami (IDPs).[3] Ekitebe kya JRS kisangibwa mu Rome ku Society's General Curia. Dayilekita ow'okuntiko ye Rev. Thomas H. Smolich SJ.

  1. http://en.radiovaticana.va/news/2015/11/14/pope_francis_meets_with_jesuit_refugee_service/1186797
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-08-01. Retrieved 2023-05-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://en.jrs.net/

© MMXXIII Rich X Search. We shall prevail. All rights reserved. Rich X Search